KAWEMWE FAMILY



INTRODUCTION

Omuwandiisi yebaza abantu bonna abaamuwa amagezi n’ebyo bye baali bamanyi ku Kawemwe n’ezzadde lye abangi ennyo. Tasobodde kumenya kinnoomu. Yeebaza ne ssekwebaza Lubega Muhammed Nsamba Kawemwe , mutabani wa Nsamba Muhammad Yiga, muzzukulu wa Hajji Abasi Yiga mu lujja lwa Hajji Omar  Ntanda eyakola kyonna ekisoboka okukubisa ekitabo kino mu kyapa ku “computer” Sso nga we yakolera eddimu lino yali akyasoma mu University e Makerere esssomo lya Degree mu Industrial ne Organisational Psychology. Yebale nnyo nnyini. 
Omwana ono, Lubega Muhammed Kawemwe Nsamba , akyali muto nnyo mu myaka, Naye yatandikawo  ekibiina  ky’okukulakulanya abavubuka, ekiyitibwa Kamwimmo Youth Alliance (KYA) ekirina offices zakyo ku Nakummatt  mu Kampala. Era ye Chief Exective Director (CED) wakyo. Yaliko beauty consultant wa STRAT GROUP ku Garden City, Yatandikawo Makerere University Psychologists Students Union ne Save A Fellow era nga ayagala nnyo obuwangwa bwe n’ensi ye. Yasomera Wamala Primary school, Tawheed Islamic, Ngando sss, Kitagobwa ss, Kabowa High, Pearl Institute of Cosmetology, Makerere University.  Ensonga z’ekika kyaffe, naddala ezzadde lya Kawemwe lyonna kati y’omu ku basinga okuzimanya. Anti buli kiseera abeera yeebuuza ku bamusinga obukulu bye bamanyi ku Kawemwe, Nkunnyingi ne baganda be.     

EBIRI MU KITABO KINO
1.               ESSUULA  1
Enyanjula………………………………………………….pg    4

2.               ESSUULA 2
Ezzadde lya Nkoleera……………………………………pg    6

3.               ESSUULA  3
Kawemwe…………………………………………………pg     9
Abaana ba Kawemwe…………………………………...pg     12

4.               ESSUULA  4
Ekika ky’Engabi…………………………………………pg     18
Essiga lya Nkoleera…………………………………….pg      19

5.               ESSUULA  5
Ebyafaayo by’omutaka Masuudi Nkunnyingi………pg      19
Abakyaala ba Nkunnyingi……………………………..pg      21
Abaana ba Nkunnyingi abalenzi………………………pg     25
Abaana ba Nkunnyingi abawala………………………pg     30

6.               ESSUULA  6
Embeera y’abantu mu Butambala (1940-1962)…….pg     32

7.               OMUWANDIISI
Ekigambo eky’amagezi………………………………...pg      34
Enkomerero y’ekitabo kino

ESSUULA  1
EBYAFAAYO BY’OMUTAKA HAJJI MASUDI NKUNYINGI MUWONGE AGALAMIDDE E KATABIRA MU BUTAMBALA

ENYANJULA
Abaana ba musajjamukulu Nkunyingi n’abamu ku bazzukulu be abaaberako mu maka ge e kalamba n’e katabira be twebuuzizzaako mu kuwandiika ebyafaayo bye. Okuzaalibwa kwe n’okukula kwe tewali akumanyi. Byonna ebiwandiikiddwa byogera ku bulamu bwe nga musajja mukulu.
Nkunnyingi we yafiira mu 1966, yalina emyaka 86. Nolw’ekyo yazaalibwa eyo mu 1880. Tewali amanyi wa bakadde be gye baamuzaalira. Oba oli awo  yazaalibwa nga kitaawe Kawemwe  akyali Bulemeezi, anti waliwo bakadde baffe abamu abaatubuulira nti Kawemwe ne bagandabe baava Bulemeezi.
Jjukira nti mu 1884, omusajja eyali omukambwe ennyo gwe baayitanga  Mukaajanga, we yayokera abasomi b’eddiini e Namugongo ku biragiro bya Kabaka Mwanga ll eyali yakalya obwa kabaka mu mwaka ogwo.
Ensi yonna yalimu abantu batono nnyo mu biseera ebyo. Ggwe ate olaba mu 1900 abaami ba kabaka abaagabana ettaka mu Buganda baali lukumi lwokka (1000).
Abantu abaayiga okusoma n’okuwandiika baali batono ddala. N’olwekyo tewali biwandiiko bingi byojja kusoma omanye bajjajjaffe abaali ku nsi mu biseera bya Ssekabaka Mwanga ll, oba Ssekabaka Muteesa l, oba Ssuuna ll, oba Ssemakokiro. Ba Ssekabaka bano bebaali bafuga Obuganda mu bulamu bwa jjajjaffe Nkoleera n’ezadde lye, okutuukira ddala ku jjajjaffe Nkunnyingi ne bagandabe we bavubukira.
Nkunnyingi bw’abeera nga yazaalibwa mu 1880, oba oli awo taata we, Kawemwe yazaalibwa eyo mu 1850. Olwo taata wa Kawemwe, Kubooza ne baganda be baazalibwa eyo mu 1830. Ate taata wa Kubooza Sabataya ateekwa kuba nga yazaalibwa eyo mu 1805. Ssekabaka Ssemakokiro eyafuga Obuganda mu 1797-1814 yasanga Nkoleera muvubuka. Bino Byonna bya kuteebereza. Tewali bujulizi buwandiike ku nsonga eno, era tewali nsonga yonna ekukyayisa oba ekuvumisa bagandabo.
Kisaana kitegeerekeke nti Buganda tewali yali amanyi nsalo zaayo gye yali eyita. Ate ensi Uganda yo teyaliwo. Congo, Rwanda, Burundi, Bunyoro, Tanganyika, Busoga, byalimu abantu batono nnyo ate nga batambula ne bava mu kitundu ekimu ne bagenda basenga awalala olwentalo , endwadde, n’enjala. 
Amakubo byalinga bisinde bya nsolo. Ensi yalimu ebibira ebikutte Ebule ne Bweya.
Enkoola, emigga eminene nga Katonga, Kagera, Kiyira, Ssezzibwa, Mayanja, ensozi ennene ennyo n’ennyanja byali bifumbekeddemu goonya, envubu, empologoma, ebiwuka ebikambwe, emisota n’ebirala ebyentiisa nfaafa.
Obanga okuva ku Nkoleera we yabeerera  ku nsi wakayitawo emyaka bibiri (200) byokka, naye olwo Ssekabaka Kimera oba Ssekabaka Kintu abasussizza emyaka 700, Ensi mwe baaberanga yali efaanana etya?  Abantu abali mu Uganda olwa leero basukka obukadde 36. Mu 1962  ku Meefuga, abantu baali obukadde 7. Mu 1950 abantu baali obukadde 4. Olwo mu 1880 baali bameka?
Abantu b’omu nsi ze Bulaaya, America, China, Japan, India, Buwalabu bo bawezezza emyaka nga kakaaga (6000) kalamba nga bamanyi okusoma n’okuwandiika. Era balina ebintu nkuyanja bye bazuula mu njazi ne mu ttaka abantu bedda ennyo bye baakozesanga. Ebintu ebyo babikuumira mu bizimbe bye bayita “museum”. Wano mu Buganda ebintu bajjajjaffe abedda ennyo bye baakozesanga mu bulamu obwa bulijjo bannaddiini babiyita bya sitani! Babyokye! Kitalo! 
Bajjajjaffe abaaliwo ku nsi emyaka 200 n’okweyongerayo emabega tubamanyiiko kitono nnyo ddala. N’olwekyo tubaleke! 
Ebitundu by’ensi Buganda mu mirembe egyo ekyalo oba omuluka, oluusi n’magombolola mwabeerangamu abasajja abalina amaka abatawera na kkumi. Ssemaka yalina nga obuyinza obujjuvu ku bantu bonna abaaberanga mu makage. Era yali nga wa ddembe okubabonereza n’obukambwe obuyitirivu, gamba nga okubasalako amatu, emimwa, engalo n’okubakuulamu amannyo.
Ssemaka yaleetanga abaana ba baganda be n’abo be yagwiikirizanga mu makubo ne bamulekwa mu makage era ne ba beerera ddala omwo obulamu bwabwe bwonna. Abantu abo bonna yabayitanga baana be. Abawala abamu yabafuulanga bakazi be.
N’olw’ekyo, bwe tugamba nti Nkoleera yazaala Abaana mukaaga (6) oba munaana (8) , tewali bujulizi bumatiza nti ddala abaana abo baali baviira ddala mu ntumbwe ze. Era tewali nsonga ekukyayisa baganda bo nti kubanga okizudde nti tebaviira ddala mu ntumbwe za Nkoleera. Abaganda baava dda nnyo nga basembeza abantu ne bafuukira ddala ab’ekika ekimu. Okuva 1962 ku Meefuga, okutuusa olwa leero  Uganda ezze efugibwa abantu abatamanyiddwa buzaale bwabwe. Ggwe muganda wange, atalina kifo kyonna mu nfuga y’eggwanga, lwaki wandyonoonye ebiseera byo n’amaanyi go nga owanuuza ebyaliwo emyaka 300 oba 500 oba 800 egiyise, nga tobirinaako bukakafu yadde obuwandiike, okuggyako okuteebereza !
N’olwekyo bazzukulu bannange mwewale omuntu yenna amala gapanga-panga bigambo sso nga ensibuko yaabyo tagimanyi. Era mu ngeri yeemu mwewale omuntu amala gawandiika bitabo ebifa ku kika kyaffe nga tebamaze kwebuuza ku bajjajjaffe ne’bakadde baffe,  abaalabako era no’kubeerako ne Kawemwe, anti abamu bakyali balamu, mu mwaka guno 2013       
Mu kitabo kino tujja kwewala ebintu ebijweeteke, ebitaliiko bujulizi bumala. Tujja kusooka tuwandiike bye tumanyi ebitono ennyo ebyatubuulirwa bakadde baffe bye baalaba nga bakyabeera mu maka ga jjajjaabwe Kawemwe e Kingo mu Masaka.  Tujja kuwandiika bitono nnyo ku baana ba Kawemwe, era tujja kuwandiika bitono nnyo ku baganda ba Kawemwe bye tulinako obujulizi.
Tujja kusooka tuwandiike ku zzadde lya Nkoleera oyo nga ye jjajjaffe amanyiddwa obulungi amalaalo ge gye gali, era n’ezzadde lye. Taata wa Nkoleera ye Kaluli.
Amannya ga bajjajjaffe  g’onosanga mu kitabo kino gali mu kitabo ew’omutaka ow’Essiga Nkoleera. Gendayo ogesomereko!

                        ESSUULA    2
 A.   EZZADDE LYA NKOLERA Mutabani wa Kaluli

Obutaka bwa Nkolera bwali Kasijjagirwa mu kibuga Masaka. Amalaalo gonna agaali e Kasijjagirwa gaggyibwayo nga ekitongole ky’Amagye ga Gavumenti kitutte olusozi olwo lwonna ne gatwalibwa e Bbaala.
Abaana ba Nkolera be bano:-
1.     Naddangira.        Bazzukulu be bekutulamu emituba ebiri
·        Ogwa Naddangira omuva owessiga lya Nkolera,
·        Ne Wamberi.
2.     Bwanswa. Na gwo gumaze emyaka mingi nga gwavaamu Emituba ebiri
·        Ogwa Bwanswa
·        Ne Kyajja.
3.     Sabataya
4.     Luyima.      Bazzukulu ba  jjajjaffe ono bali ludda wa?
5.     Mulwadde
6.     Kukeera.     Bazzukulu ba jjajjaffe ono bali ludda wa?

A.    Abaana ba Naddangira Mutabani wa Nkolera be bano;-
1.     Majwega.    Mu bazzukulu be mwe muva Ow’essiga lyaffe erya Nkoleera.
2.     Byakutaaga
3.     Muganda
4.     Musoke

B.    Abaana ba Sabataya Mutabani wa Nkoleera be bano:-
1.     Kubooza
2.     Lwanyiga
3.     Gamuzana
4.     Magambo
5.     Wakuze
6.     Masanga
7.     Ndigwamulwere
8.     Muganda

C.   Abaana ba Bwanswa Mutabani wa Nkoleera:-
1.     Kisawuzi
2.     Wasula
3.     Mukunyu
4.     Senkumba
5.     Mukonzi
6.     Musenze
7.     Bagayadde

D.   Abaana ba Mulwadde Mutabani wa Nkoleera:-
1.     Kasiwukira
2.     Mutaka
3.     Muwayire
4.     Bugala

Nga bwe tukulaze waggulu  (C) , omu ku baana ba Sabataya ye Kubooza. Abaana ba Kubooza be bano:-
1.     Kawukuzi
2.     Biraze.        Ono yazaala Kacwano. Ate Kacwano n’azaala Kategere
3.     Kawemwe
4.     Bugeza.       Ono ye yasikira Kubooza
5.     Lupaapiira. Ono yabeerako e Katabira nga mulwadde mu (1940s )
6.     Busenze
7.     Tazzibwawo
8.     Mpalimuyinza.
     Bugeza bwe yazaala abalongo, yagenda ewa muganda we Kawemwe amuwe Ssalongo. Kawemwe yamusindika wa muganda waabwe omulala, Serugga gyaba anona Ssalongo. Serugga yamuwa Mikayiri Baziwaane, okubeera Ssalongo.
Abaana ba Bugeza baafa nnyo okutuusa lwe yasigazaawo babiri bokka nga bawala: Maria Kigongo ne Nyense Nabukeera. Maria Kigongo yabeeranga Nsaggu okumpi ne Buddo, ate ye Nyense Nabukeera yabeeranga Katabira n’abaana be Katende, Mukiibi, ne Posiano. Agalamidde awo e Katabira. Muwala wa Nkunnyingi Hajati Rehema Namuyomba Nabawanuka ye yamusikira. 
Ate Bugeza , Mutabani wa muganda we (Kawemwe) ayitibwa Nkunnyingi  ye yamusikira. Laidi Bukedde ye yasumika. Yayambibwako Bumali Kyebavuma.
Omutaka Nsamba Owakasolya k’ekika ky’Engabi yatongoza Essiga lyaffe erya Nkolere mu 1956. Layidi Bukedde gwe yasumika olubugo lw’owessiga. Layidi Bukedde yakulembera Essiga lya Nkolera okutuusa lwe yafa mu1960. Mutabani we Sowedi Wamala Sabawali ye yamisikira era n’akulembera Essiga eryo okutuusa lwe yafa mu 1980. 
(Muzzukulu munnaffe, naawe noonyerezaako ku bazzukulu ba Mikayiri Baziwane, Serugga, ne Bumaali Kyebavuma. Bali ludda wa?)

Baganyulwa Mutabani wa …….?    yazaala
·        Kibulamazzi
·        Mikabulemu
·        Kayija
·        Kipamira   ne
·         Kinyaga
Makobole Mutabani wa ………..?  yazaala
·        Ssekisambu  ne
·        Kangabaana
(Gwe munafe asoma ebigambo bino gezaako okunoonyereza ku bajjajjaffe abo, Baganyulwa ne Makobole. Ani yali abazaala????)

Okusinziira ku kiraamo kya jajjaffe Nkunnyingi kye yakola mu 1962, agamba nti “musajja muganda. Ye Hajji Masudi Nkunnyingi Muwonge. Yeddira Ngabi, mu ssiga lya Nkoleera era Nkoleera ye jjajjaawe mu lunyiriri lwa Kubooza ”. Era yayongerako nti “nkuutira abaana bange bonna tewabangawo ekintu kyonna kye bakyusa mu kyo. 
Ani alina amaanyi  asobola okukyusa ebigambo jjajjaffe bye yawandiika mu kiraamo kye?
Mwewale abantu abo abagezezzaako okukikyusa.
Waliwo n’ekiwandiiko ekirala nga kigamba nti Mutabani wa Bwanswa, Musenze teyazaala. N’olw’ekyo kiba kikyamu okugenda mu maaso nga tugamba mbu taata wa Kawemwe ye Kyajja, nti jajja wa Kawemwe ye Musenze, sso nga Musenze teyazaala.

Okuviira ddala mu 1966, Obote lwe yasanyaawo obwakabaka bwa Buganda, Ebika bya Baganda byonna byasannyalala nnyo. N’ewankubadde Obwakabaka bwazibwaawo mu 1994, Buganda bweri kati ssi bwe yali, era ebika byonna binafu nnyo. Abantu batono nnyo abajjumbira enkiiko oba emikolo gy’ebika. Mu ngeri y’emu abantu abasinga  obungi banyumirwa mipiira gya primier League, European Cup of Nations, Africa Cup of Nations, oba ebifaananyi ne firimu ku TV, ne internet. Ate n’emiwendo gy’entambula n’ebintu egirinnya enkya n’eggulo kw’ossa na madiini agameruse ebiro bino nga gavimirira eby’obuwangwa,  tekisobozesa bantu kumala bisera bya bwe mbu balowooza ku bika byabwe. Kitalo!.

ESSUULA   3.
KAWEMWE
TAATA WA MUSAJJAMUKULU NKUNNYINGI.
Mu bisera Kawemwe mwe ya vubukira , abantu baali mu ddukadduka, anti entalo wakati w ‘Abaganda n’Abanyoro zaali ziyinda. Era waaliwo ebigambo ebyayitinngana nti abasajja ba ceeruppe abazungu n’abawarabu baali bazinze ensi yonna. Baakwatanga  abavubuka ne babakuba emiggo emiyitirivu n’okubalya ebisiyaga. Baabasibanga enjegere emikono ne ku magulu olwo ne babatwala mu buddu, mu bulumi obutagambika eyo mu nsi z’abazungu Buwarabu ne America.
Abantu baabonabona nnyo mu ntalo ne mu buddu. Abantu baamalanga gadduka ne bagenda nga basenguka okutuusa lwe baazaayira ddala. Bino by’ebiseera Kawemwe ne baganda be mwe baavubukira.
Waliwo bakadde baffe abaatunyumiza nti Kawemwe ne baganda be baava Bulemeezi. Bwe baatuuka mu byalo by’eMatugga ku mbalama y’ekibira kye bayita Buyego ne basenga awo. Mu kibira kino Buyego mwe muli ekiggwa ky’omusambwa Kawumpuli.
Bwe baava e Matugga baaserengeta ne batuuka e Mawokota, era eyo Kawemwe gye yafunira mukazi we Bifa Muwala wa Zimbe. Eyo gye baava ne basomoka Katonga ne Lwera olwo ne batuuka mu Buddu. Ebiseera bino abantu baamalanga gaduma ne babuna emiwabo. Abanafu, abakadde n’abalwadde baasigalanga eyo bannaabwe bo ne beeyongerayo anti nga bali mu dduka ekibabu. Baaberako mu byalo ebiriranye Mukoko era awo baganda baabwe abamu we baasigala. 
Kawemwe n’omu ku baganda be gwe bayita Bisigolo bo beyongerayo n’abantu baabwe ne batuuka ku mugga Nabajjuzi e Kyabakuza. Bisigolo yasigala awo e Kyabakuza. Oluvannyuma yagenda n’asenga e Kisoso era eyo ye wali amalaalo ge. Kawemwe yagenda n’asenga ku lusozi Kingo.
Baganda ba Kawemwe abalala bo baddukira wa?  (oyinza okutuukirira abakulu b’emituba Sabataya, Bwanswa, ne Naddangira. Bayinza okumanya wa gye bali_______ oba ow’Essiga yennyini).
Erinnya lya Kawemwe kitaawe lye yamutuuma ye Kyaluzi era nga lyamubbulwa mu bajjajjaabe abeemabega. Erinnya lye erye ddiini ye Petero, era abalala bamuyita Yoseph.  Mukazi we nga anobye nadda ewaabwe, Kawemwe yasitukiramu nga aliko n’obumansuka n’atindigga olugendo lw’okunona mukazi we ono. Bwe yatuuka, yali nga azze ewuwe. Buli omu yamuyitako n’obusungu ppaka munju omukyala mwe yali yeekweese, namukukunulayo n’amuzza ewuwe mumaka. Olw’okuwemukira kubuko, kw’ekwaava  Erinnya Kawemwe   Talina mwana we yadde muzzukulu we gwe yalibbulamu nga mulamu ppaka nga amaze okudda mubwembuyaga. Nyina yayitibwa nga  Mbyogerambitya.
Era Kawemwe yabbula erinnya eryo mu muzzukulu we, Muwala wa Mutabani we Nkunnyingi ayitibwa Bitamisi Nabatanda. Era Kawemwe yennyini yatuuma kawala ka muzzukulu we Omar Ntanda eyali abeera naye  awo e Kingo nga azadde n’abaana abawerako Erinnya eryo Mbyogerambitya. Omwana oyo ye Nalongo Namatovu abeera e Kyaliwajjala.tewari amanyi malaalo ga Mbyogerambitya gye gali.
“Kawemwe yali musajja wa bantu ate nga munyumya. Buli lwe yakomangawo nga ava mu mikwano gye , yawanulangayo engoma ye nga akuba “Kalikuta, kalikutanda ne kakusuula mu b’engabi abasambaganyi ! Aa ! Aa !”” Muzzukulu wa Kawemwe Hajati YudayaNabukenya eyabeera ennyo mu maka ga Kawemwe okutuusa lwe yasuna amabeere ye yatunyumiza ebigambo bino. (omuntu ayagala okumanya ebisingawo ku Kawemwe , agende mangu ewa muzzukulu we oyo anti abeera Makindye, era akyategeera bulungi na kaakano mu 2013!)
Abantu ba Kawemwe baalima ensuku ennungi ennyo ku lusozi Kingo ezaawangaala ne zituuka mu myaka gy’enkaaga nga ne Uganda yeefuga.
Abamu ku bazzukulu be abaakula ne bawasa ne bazaala n’abaana awo e Kingo mwe muli Omar Ntanda ne Zakaliya Muwonge Kabaaya, Sabane Matovu ne Rajab Ntanda. Omar Ntanda ne Zakaliya Muwonge bo beezimbira n’akaduuka awo ku kkubo erigenda e Mbarara ku kibanja kya jjajjaabwe. 
Abaana ba Kawemwe be bano:-
1.     Miisi Mukasa
2.     Masudi Nkunnyingi Muwonge
3.     Mustafa Kapere
4.     Tanansi Ntanda Byanganga
5.     Luleba Yowana
6.     Ndereya Matovu
7.     Solome
 Kawemwe bwe yafa, yaziikibwa Mawulemu ku lusozi Mawugwe. Muzzukulu munange, ojje ogende olambule ku kijja kya jjajjaffe Kawemwe!
Omuntu yenna alowooza mbu oba oli awo abaana abo abamu ssi ba Kawemwe, ddembe lye okwogera by’ ayagala.(singa abeera n’obujulizi kw’ekyo n’atabuza bazzukulu bannaffe). Wabula akimanye nti Abaganda baava dda nnyo nga tebaboolagana. Ate era osaana omanye nti abantu b’ogezaako okuboola bayinza okubeera mikwano gyo n’ezzadde lyo eyo mu maaso abayinza n’okukuggya mu buzibu bw’oba oguddemu!  Sso nga abo b’oyita baganda bo ddala bayinza okukulima empindi ku mabega n’okukuliisa akakanja! 


ABAANA  BA  KAWEMWE

1.     MIISI MUKASA.
Mutabani wa Kawemwe
Yali musajja mujagujagu nnyo. Yali amanyi okusoma n’okuwandiika olulimi Oluswayiri, Oluganda n’Oluziba. Yali musuubuzi wa nte. Yatambula mu bitundu by’ensi bingi nga ali wamu ne bato be Nkunnyingi ne Kapere e Kooki ewa Kamuswaaga, e Buddu , e Mawokota ne Butambala; oluvanyyuma baasenga ku mitala Bulugu ne Kalamba mu Butambala. E Butambala  Miisi Mukasa yazaalilayo abaana be bangi, era ye yakyusa obuwufu n’addayo e Buddu. Eyo gye yava ne yeeyongerayo e Kooki, n’asomoka omugga Kagera n’atuuka e Kiziba mu Tanganyika.
Lumu yagenda ne basajja banne okuyigga Envubu, era ye yamutta n’aziikibwayo. Ekibanja kye eyo Ekiziba kikyaliyo.
Abaana be bonna be yazaalira e Butambala yabalekera muganda we Nkunnyingi, era Abawala bwe baakula, Nkunnyingi ye yabafumbiza nga awatali kujuliza kitaabwe ddala, era be bano:-
        I.            Hajati Saliima Nalubega.
Ye yali muzzukulu wa Kawemwe omukulu. Yabeeranga Mpenja mu Gomba, era gye yaziikibwa.

     II.            Asiyati Nabukeera.
Yafumbirwa Yunus Mukasa e Ssenene. Yaziikibwa Katabira era Muwala wa Hajji Sabane Matovu, Adiya Nabitandikwa ow’eBwetamiiza mu Butambala  ye yamusikira.  

  III.            Mwamini Nayiga.
Yafumbirwa Sowedi mu Lubugo. Mutabani we Nuhu tatera  kubula mu kuziika n’emikolo gyonna e Katabira. Mwamini yaziikibwa Katabira.

  IV.            Fatuma Namatovu Kisiimwa.
Yali mukazi mweru nnyo. Yafumbirwa Butannaziba awo ku Busozibulongo okuliraana Kibibi UMEA Primary School. Bwe yafa, yaziikibwa Kakomo okumpi ne Mpenja mu Gomba

     V.            Bulayimu Matovu Kabendera.
Yatabaalako mu Ssematalo ll, e Burma ne mu nsi eziriranyewo. Nkunnyingi yali amuwadde ekibanja eyo ku lusozi, Wabula yasalawo okwegulira ekibanja ekikye e Janya okumpi ne Mpigi. Oluvannyuma yasengukira e Kakomo, era bwe yafa, gye yaziikibwa.
Bwe yava mu ntalo e Burma , yali ayize okuvuga Emotoka. Era emotoka gye yavuganga yagisibangako Bendera eyeewubiranga mu mpewo . abantu kye baava bamuyita Kabendera .
(olwa leero taata waffe Muwonge atuuma abaana be erinnya eryo mbu lya balangira! Kitalo!!! ).

Miisi Mukasa e Kiziba yazaalilayo abaana be abalala bangi.

  VI.            Sayidi Lubega.  Ono ye taata wa mukulu waffe Sowedi Matovu.
VII.            Zedi Muwonge
VIII.            Rajab Lubega
  IX.            Janati Nakanwagi
     X.            Siyana Namuyomba
  XI.            Safina Nalubega
Olulimi Oluganda abantu bano lwe baayogeranga lwalinga lumenyefumenyefu, anti baali bamanyi Luziba.
Bonna baakyalanga nnyo E Katabira. Miisi Mukasa ye yasendasenda baganda be Nkunnyingi ne Kapere okusiramuka. (ebiwandiiko bya Miisi Mukasa osobola okubyesomera n’olaba omuntu eyali omugezi ennyo mu biseera ebyo.)



KIKATO.  Mutabani wa Bisigolo
        Muganda wa Kawemwe , Bisigolo eyasigala e Kyabakuza, ye yazaala Kikato. Kikato yakulira mu maka ga Kawemwe. Kikato yazaala omwana omulenzi omu Rajab Ntanda, n’abawala Tawuusi Nalubega,Habiba, Sauda Nayiga, Agiri Nakanwagi.
Mutabani we oyo bwe yakula, n’ayiga okuweesa n’okufukuta amasengere, era abantu kye baava bamuyita Kaweesi. Yabeeranga Kyabakuza , era bwe yafa mu 1979 yaziikibwa Kisoso

Abaana ba Rajab Ntanda Kaweesi be bano:-
Ø Hajati Nayiga e  Mulago Medical School
Ø Nabukenya e Kasijjagirwa
Ø Yudaya Nakimbugwe e Namungoona
Ø Amina e  Mukono
Ø Abdu Bukenya yafa azadde
Ø Ramathan Yiga teyazaala
Ø Babirye e Butambala
Ø Nakato e Kyebando
Ø Hasifa ali Bulaaya
Ø Bukenya e Buziga

2.     MUSTA FA KAPERE
Mutabani wa Kawemwe.
Yava Buddu ne baganda be ne basenga e Kalamba okumpi ne Kabasanda. Eyo gye yazaalira abaana be abakulu. Oluvannyuma yaddayo e Buddu, kyokka abaana be yabalekera mukulu we Nkunnyingi. Kapere yakyalanga nnyo e Katabira ewa muganda we Nkunnyingi, era ye yasalanga emisango abakazi n’abaana gye bazzanga e Katabira. 
Abaana be beyalekera muganda we be bano:- 
       I.            Rajab Ntanda ye yali omukulu
    II.            Zakaliya Muwonge Kabaaya
 III.            Miisi Kasozi Namukadde
 IV.            Sabiiti Lubega
    V.            Sayida Nayiga
Mustafa Kapere e Buddu yazaalilayo abaana be abalala era be bano:-
 VI.            Juma Matovu Bamweyana
VII.            Budala Matovu
VIII.            Kamida Nabukeera
 IX.            Hanifa Nabukeera
    X.            Halima Nalubega
 XI.            Jaliya Nakanwagi
XII.            Hanifa Nassaka
XIII.            Mayi Nakanwagi. (Maama wa Mayi ye yali omumbejja nga erinnya lye ye Nakimbugwe). Bba wa Mayi yayitibwanga Mutuba.
 Abantu bangi batuumye abaana baabwe n’abazzukulu nga balowooza nti erinnya eryo Nakimbugwe lyabwe. Naye ekituufu erinnya eryo libbule. Muka Mustafa Kapere y’eyali omumbejja nga ayitibwa Nakimbugwe ye yazaala Mayi Nakanwagi. Lino erinnya eribbule obubbuzi terifuula muntu kubeera mumbejja oba mulangira. Muzzukulu wa Mayi Nakanwagi ye Sheikh Bwanika. Yali akolera mu Bank of Uganda. Oyinza okumutuukirira n’akunnyonnyola ebisingawo.

Rajab Ntanda yakulira mu maka ga kitaabwe Nkunnyingi e Kalamba. Emirundi mingi nnyo kitaabwe oyo yabazuukusanga mu matumbi budde ne bagenda e Kibibi oluusi ne Gombe kitaabwe gye yasuubulanga pamba. Emirundi mingi baagwikirizanga emisege oluusi n’engo, anti ebitundu by’ensi eyo byali bikutte ebibira n’ensiko.
Amannya g’ebibira bino wammanga gakulaga ensi nga bwe yali efaanana:-
Bbebe, Nkuboye, Mugojja, Nakuzeesinge, Nawandigi, Nsawoyo-etoba, Nabibooge, ne Kizzikibi.
Ate ebyalo waliyo Kyerima, Nawango, Wabikookooma, Lwamasaka, Lugali, Bugobango, Ngo-eribalya n’ebirala.
Rajab Ntanda Agalamidde ku mutala Ttagga

Hajji Zakaliya Muwonge Kabaya
Yabeera nnyo e Katabira okutuusa naye lwe yaddayo e Buddu. Yali musajja musuubuzi wa mmwanyi era nga mulimi. Yali omu ku bantu abaatwala Nkunnyingi ew’omusawo Paulo Nangoma e Kalama bwe yali atandise okulwala, era emotoka gye baagenderamu ewa Nangoma yali yiye. (Nkunnyingi teyatwalibwako mu lubiri lwa Kabaka Winyi era tatuuzibwangako ku ntebe y’abalangira, nga bannaffe abamu bwe babijweteka). Agalamidde Nakitokolo.

Hajji Sabiiti Lubega
Naye yabeerako e Katabira okutuusa lwe yaddayo e Buddu. Yali musajja mugezi nnyo ate omusuubuzi omututumufu mu kibuga Masaka. Era ekipande ku dduuka ye kyali kisoma “HAJJI  SABIITI  LUBEGA   Tulakita gye yali avuga okusika Loole eyali yetisse ebikajjo ye yamutta. Agalamidde Kyabbogo.
         
Sayida Nayiga
 Bwe yakula, n’afumbirwa omusajja eyayitibwanga Sabika eyabeeranga mu byalo ebiriranye Busolo e Gomba. Ewa Sabika , Sayida yazaalayo abaana abalenzi bibiri. (Budala ne Lwasi) no muwala omu (Madiina). Sayida agalamidde Katabira.
Hajji Miisi Kasozi
yeepaatikako Erinnya Namukadde, era erya Kasozi abantu ne balyelabira.  Namukadde bwe yavubuka, yeegulira ekibanja awo ebusukka kubo ku muzikiti gw’e Kibibi omunene era w’agalamidde.

3.     TANANSI NTANDA BYANGANGA
Mutabani wa Kawemwe.
Jajjaffe ono yafuna Erinnya eryo Oluvannyuma lw’okwoleka obuzira bwe ku kyalo awaali wafudde omuntu. Omulambo nga bamaze okuguzinga mu mbugo balyoke baguganzike mu ntaana, abantu baagenda okulaba nga omulambo gusituka nga gwesimba muntaana busimbalaala. Awo abakungubazi bonna nga beesaasabaga bwe badduka ekijjankunene ky’omulambo. Jjajjaffe Ntanda ye yekka eyaguma n’asigala ku ntaana, omulambo n’agukwatira wansi mu ntaana, era n’akowoola abantu bajje bamuyambe baguyiweko ettaka! Banne beesowolayo mpolampola ne basembera ku ntaana, ne bamuyamba okuguyiwako ettaka. Okuva olwo abantu bonna kwe kumukazaako erinnya Byanganga.
Abaana ba Byanganga be bano:-
                   I.            Maneuri Sentoogo
                II.            Joseph Muwonge
             III.            Dolotia Namatovu
             IV.            Mangada Namatovu
                V.            Bena Nabukeera
             VI.            Mawulisia Nakanwagi
Byanganga agalamidde Mawulemu ku kijja kya kitaabwe Kawemwe.

4.     YOWANA LULEBA
Mutabani wa Kawemwe.
Jjajjaffe ono yazaala Omwana omu yekka. (Tereza Nakanwagi) agalamidde ku kijja kya kitaabwe.
5.     NDEREYA MATOVU
Mutabani wa Kawemwe . 
Yazaala abaana bibiri bokka, era be bano:-
                   I.            Falasiko  Nkunnyingi
                II.            Steven  Wamala.
Agalamidde ku kijja kya kitaabwe.

6.     SOLOME
Muwala wa Kawemwe.
 Abantu bagezezzaako okumutuuma amannya bangi nga yafa dda olwebigendererwa byabwe. Naye ffe tumanyi nti jjajjaffe oyo ye Solome.
Edda abaana Abawala baafumbirwanga bakyali bato nnyo, bangi nga tebannaba kuweza myaka 15 egy’obukulu.  Babbaabwe baali bakambwe nnyo ate nga tebabakkiriza kugenda kukyalako mu bakadde baabwe oba ab’enganda zaabwe. Ky’ova olaba nga Okuviira ddala eyo emabega ku Nkoleera okutuukira ddala ku Nkunnyingi , abaana Abawala abaazaalibwa mu zzadde lya Nkoleera ne bazzukulu be mulimu  abawala batono ddala be tumanyi.
(muzzukulu munafe ali eyo yenna nga olinayo ekiwandiiko kyonna ekikwata ku byafaayo bya bajjajjaffe, Kawemwe n’abalala, tukusaba otuweeko naffe tukisomeko.)










ESSUULA  4

EKIKA KY’ENGABI
Ekika ky’Engabi kirimu abantu bangi nnyo mu bitundu by’ensi ezetoolodde Buganda n’okweyongerayo. Sso ne Busoga, Toro, Nkole, Bwamba, Kiziba ne Congo, Rwanda. Bonna tebalina muntu omu gwe bagamba nti ye jjajjabwe mwe bava.
Wabula wano mu Buganda abeddira Engabi bagamba nti jjajjaabwe ye Nsamba, omutaka ow’Akasolya. Mu kika kye Ngabi wano mu Buganda kirimu amasiga nga buli limu likulirwa omutaka atwalibwa okuba omwana wa Nsamba 22.
Nsamba eyasooka yava Bunyoro ne muganda we omubbeere Kimera, anti nnyabwe y Wannyana, Muwala wa Mugalula ow’Ensenene.
Obutaka n’amaka ga Nsamba biri Buwanda okumpi ne Buwama mu Mawokota.
Amasiga gagenda geyongera obungi, era kisaana kitegeerekeke nti Nsamba bwe yava e Bunyoro,  mu  Buganda yasangamu   ab’engabi bangi mu bitundu ebitali bimu. Ne mu bizinga bye Ssese ab’engabi yabasangayo . ate abantu baava dda nnyo nga basenguka okuva mu bitundu by’ensi ebimu ne badda mu birala. Abamu baava Congo, Rwanda, Burundi, Busoga ne Tanganyika. N’olw’ekyo Nsamba ye bonna abatwala nga bazzukulu be. Wabula buli omu waddembe okwegaana Nsamba, era awo agenda ne yeenonyeza ekika ekirala gye yeegazanyiza. Tewali nsonga yonna yandibadde ereegesa bantu bikya ku songa eno!
Olwa leero Katikkiro wa Nsamba ye Semaganda Owessiga lya Mulyanga e Ssese. Ate Nkolera Sr. Matovu ye Sentebe w’Akakiiko akakulaakulanya ekika ky’Engabi, ate mikiise ku kakiiko akasala emisango mu kika ky’Engabi.
KIKAKAFU DDALA NKOLERA
Yali Yeddira Ngabi, oba mulangira?
Kino ekibuuzo, muzzukulu munange ggwe wennyini tuyambe okiddemu. Wabula sooka otukakase nga oleeta obujulizi obumatiza nti omusajja n’omukazi b’otwala nti be bakadde bo (taata wo ne maama wo ) ddala be bbo bennyini!!
Omanyira kuki era n’okakasa nti omukazi eyakuyonsa ddala ye nnyoko???? Ate omusajja gw’oyita taata wo okakasa otya nti ddala ye taata wo???. Bombi bayinza okuba nga balina kye bakukweka ekiyinza n’okukuviiramu obulamu bwo okugootaana.

ESSIGA LYA NKOLEERA.
Mu bika by’Abaganda, obukulembeze ku mitendera gyonna butandikira ku nju oba nnyumba ya buli muntu omusajja akuze nga azadde abaana. Baganda b’omusajja oyo na bo buli omu abeera n’enju eyiye. Taata w’abasajja bano ye w’olujja. Jjajjaabwe ye w’olunyiriri. Abakulu b’ennyiriri be bakola Omutuba. Ate Emituba gye gikola Essiga.
Essiga lyaffe erya Nkolera lyatongozebwa Omutaka Nsamba mu 1956.
Essiga liyinza okubeeramu Emituba mingi nnyo, sso nga eryaffe erya Nkoleera tulina Emituba 6 gyokka, era gye gino:-
1.     Naddangira-    agukulira ye Hajji Naddangira
2.     Kyajja -            gukulirwa Ahmed Bukenya Ssalongo
3.     Bwanswa  -      gukulirwa Sebyala
4.     Wamberi  -       gukulirwa Ssalongo Teefe
5.     Sabataya  -      gukulirwa Seguya Wamala
6.     Muwambiro -   gukulirwa Isaac Yiga
Mu 1956 Nsamba, Omukulu w’Ekika ky’Engabi lwe yatongoza Essiga lyaffe. Layidi Bukedde ye Nkolera eyasooka, yafa 1960. 
Emituba egimu girimu abazzukulu bangi nnyo, sso nga emirala girimu batono.Emituba egyo egirimu abazzukulu abangi ennyo gisobola okwekutulamu ne givaamu Emituba ebiri oba esatu, olwo buli gumu ne gubeera nga gutuuka butereevu ew’omukulu w’Essiga.
Omukulu w’omutuba ayinza okulondebwa akulembere bazzukulu banne ab’Ennyiriri, n’Empya, n’Enju okusinziira ku bisaanyizo bye ne bwabeera nga tasikiranga muntu yenna.
Ennyiriri ezikola Omutuba gwa Kyajja ze zino:-
1.     Nkunnyingi
2.     Miisi Mukasa
3.     Kikato
4.     Mustafa Kapere
5.     Byanganga
6.     Luleba
7.     Ndereya Matovu
Mu ngeri y’emu, tukiddinganye emirundi nti ebyafaayo bya bajjajjaffe abaaliwo emyaka 200 n’okweyongerayo emabega tetubirinaako buwandiike bukakafu.
Jajjaffe Nkunnyingi ye yasikira Kawemwe. Era wano we tutandikira okulombojja ebyafaayo bye n’ezzadde lye.  



ESSUULA 5
EBYAFAAYO BY’OMUTAKA NKUNNYINGI
Amannya ga jjajjaffe ge yeetuuma ge gano:-
1.     Nkunnyingi
2.     Masudi ­­­____ olwo yali asiramuse
3.     Muwonge ____lya Ngabi
4.     Bwana
5.     Ntambaazi ya nnyomo erinnya Omuti nga yeetisse
6.     Hajji Mukulu
Tetumanyi taata we Kawemwe Linnya lye yamutuuma.
Mu kiraamo kye, kye yakola mu 18/2/1962 agamba nti ye Hajji Masudi Nkunnyingi Muwonge. Era agamba nti musajja muganda nga Yeddira Ngabi. Kitaawe ye Kawemwe , jjajjaawe ye Nkoleera era mu ssiga lya Nkoleera mwasibuka mu lunyiriri lwa Kubooza. Joseph Wamala, Asumaani Mukasa Kaddunabbi, Bumbakari Matovu, Eriazali Sserwanga Wamala ne Zakaliya Muwonge be bajulizi abaaliwo era nga be bakuza ba baana be.  Nkoleera n’omutaka Nsamba yabawaako kopi. Yakuutira abaana be nti tewabaawo kye bakyusa mu kiraamo kye.
Ow’essiga Nkoleera n’omutaka Nsamba buli omu yamuwa shs 50/=. Era munywanyi we Kitwe-kya-mpanga yamuwa Kooti.  Kopi ze kiraamo kino weziri osobola okuzeesomera.
Abaana n’abazzukulu bonna , jjajjaffe Nkunnyingi yatukuutira nti tewabangawo ekintu kyonna kye tukyuusa mu kiraamo kye. N’olw’ekyo, okuggyako nga wazuusewo ekiraamo ekirara kye yakola wakati w’omwaka 18/2/1962 ne we yafiira mu 1966, tewali kkubo ddala lye tuyinza kukwata ku nsibuko yaffe. Giweze emyaka 50 malambirira okuva lwe yakola ekiraamo ekyo. Tewali kiraamo kirala kyali kizuulidwa.
N’olw’ekyo, omuntu yenna asambajja ekiraamo kino, ye n’apangawo ebigambo ebibye ebikwata ku nsibuko ya jajjaffe, ddembe lye, naye akimanye nti ayawukanye ku mugendo.
Essiga lyaffe erya Nkoleera lyatongozebwa Omutaka Nsamba Owakasolya k’ekika ky’Engabi mu 195 6.
Layidi Bukedde ye yatongozebwa okubeera omukulu w’Essiga eryo. Ate muto we Hajji Masudi Nkunnyingi n’atongozebwa okubeera omukulu w’Olunyiriri n’Omutuba gwa Kubooza. Nkunnyingi yakulembera Omutuba gwa Kubooza okutuusa lwe yafa mu 1966.
Omutuba gwa Kubooza gwabbulwamu ogwa Kyajja mu 1978.
Nkunnyingi akugambye nti asibuka mu lunyiriri lwa Kubooza. Kimanyiddwa nti Kubooza ye yasikira Sabataya , Mutabani wa Nkoleera . kati munnaffe ggwe oyagala ki?  
Nkunnyingi ne baganda be baali basajja bakambwe nnyo.  Abaana baabwe ne bakazi baabwe tebaalina mukisa gwonna kubabuuza buzaale bwabwe okuggyako nga oli ayoya miggo.
Ne Kawemwe  yali musajja mukambwe . yakuba mukazi we Nassaka eyali azaala Nkunnyingi  emiggo , era n’azaayira ddala. Ate n’erinnya lye “Kawemwe” likulaga ki kye yali.  Bazzukulu b’omukazi oyo bagamba nti misege gye gyamulya!


ABAKYALA BA NKUNNYINGI.
1.     Asiya Nakimera.
Yali Muwala wa Kiddu eyali omwami wa Kamuswaaga e Kooki ye muka Nkunnyingi omukulu. Agalamidde Katabira.
2.     Ayisa Nabayego.
Muwala wa Nabwana e Najjanankumbi mu Gombolola ye Ngando. Maama wa Nabayego yayitibwanga Muyinza Nabisere. Abantu bangi batuuma Erinnya lino, naye nga tebamanyi nti ssi lya kika kyaffe Wabula libbule. Agalamidde Wamala.
3.     Hajati Fatuma Nannyanzi.
Muwala wa Mutimba eyali owa Gombolola ya Sabagabo e Kibibi. Yali mukazi  mugezi nnyo ate nga wa kisa eri abaana n’abazzukulu ba bba bonna. Ye mukazi eyasookera ddala okwegulira motoka mu Butambala.  Mutabani we omukulu, Hajji Abdu Bukenya yatandika okweyita omulangira, omubiito, omunyoro mu 1981, era n’aleeta ebigambo n’okuwalaggana ne baganda be bakulu be, bingi
Kyokka Nyina bino byonna yabigaana N’ewankubadda nga ebiseera ebyo yali mulwadde wa lukonvuba, tava ku ndiri. Agalamidde mu Kitimba.
4.     Amina Nassejje
Muwala wa Koloti.
5.     Kalijja
Muwala wa Dawuda Basenamulweelule. Eyabeeranga e mitala mu Lubugo. Agalamidde Katabira.
6.     Safina
Muwala wa Yusuf  Lwanga e Buyenga
7.     Fatuma
Muwala wa Semu mu Kibanga. Jjajjaffe ono ye yasembayo okufa nga banne bonna baafa dda. Agalamidde ku kijja kya bba e Katabira.

Nkunnyingi yava Buddu ne baganda be era n’asenga ku mutala Kalamba, era abaana be abakulu gye yabazaalira. Yafiirwa abaana bangi nga bakyali bato e Kalamba. Yeegulira ettaka ku mutala Katabira mu 1927 era na’senguka n’abaana be bonna. Abantu be baalima emmere  nnyingi nnyo n’Ebibala, era ne balima ne mwanyi ne pamba.
Mu 1947 Nkunnyingi, yalamaga olw’eMakka ne basajja banne 6 abaava e Butambala. Baamalayo emyezi 6 anti baayitira Sudan.
Ensi Sudan nene nnyo . mulimu n’eddungu ate entambula mu bisera ebyo yali nzibu nnyo, Wabula abantu b’omu nsi eyo tebaali batemu nga kati bwe bali.
Bwe yakomawo okuva Emakka, waayitawo ebbanga ttono n’agenda akyalako ewa Nsamba e Buwanda. Mukazi we Kalijja ye yamuwerekera.
Nkunnyingi yalina omuzikiti gwe awo mu lujja mwe yasaaliranga swala zonna, era nga ne mu bisera bya Ramathan omuzikiti gwe gusaaza taraweehi. Omuwalimu we mu muzikiti ogwo emyaka gyonna yayitibwanga Lubadde.

Yali musajja mwambazi wa ngoye nungi, amakanzu aga laasi, ne liili, empeta, ekooti, basikooti, engatto, entalabuusi, empale ezaali mutema­­­__ nyimpi sinnyimpi , mpanvu simpanvu. Awaka yatambuliranga ku mikalabanda.
Mu ddiiro lye eddene yalinamu entebe moolisi mwe yatuulanga. Ate olw’eggulo yatuulanga awo wa bweeru mu bisiikirize bya Mangada n’emmwanyi mu ntebe ye eyo lugalaamirizo “mwami akooye”.
Emmwanyi ze eziri okumpi ku lujja zaabalanga nnyo, anti omuti ogumu yagulekangako amatabi agasukka ekkumi kyokka nga eno wansi basuddeyo obusa bw’Ente.
Yalina Ente ze nnyingi abalaalo ze baalundira nga  eyo ku lusozi waggulu. Ku lunaku Olw’okutaano yagenda nga Ekibibi n’asaala esswala ya Juma. 
E Bunyeenye  waaliyo Abajoona (ababumbi) b’ensuwa, ensumbi, amatogero, entamu, obubindo n’ebibya era abantu gye baabigulanga anti nga bye bakozesa mu maka gaabwe.
Makulu Kalijja ne Makulu Fatuma baasiikanga Emmwanyi enkalu ze baggyeko akakuta. Baazisiikiranga mu ntamu okutuusa lwe zaawunyanga akawoowo akalungi ennyo.
Bwe baazisekulanga, olwo ne bakola Kaawa.
Abantu abaalwalanga omutwe n’omusujja Makulu Kalijja oba Makulu  Fatuma yabamwanga ebiwugiro mu mutwe nga akozesa akamweno , yasalangawo emisale era n’ateekawo eddagala. Yassangawo ekiwuubiiro, olwo n’anuna okutuusa omusaayi ogulimu obulwadde lwe gwafulumanga!!
Okutuusiza ddala nga Uganda emaze okwefuga mu 1962, mu Butambala temwalimu ddwaliro. Abasawo ab’ekinnansi be baali bajjanjaba abalwadde, wewaawo , e Mpigi waaliyo eddwaliro, naye okutuusayo omulwadde kyali nga kizibu nnyo ate n’abasawo batono n’obujjanjabi nga butono.  Abantu bangi omuli abasajja n’abakazi baali bagumba.
Abantu baali bakyafu ekiyitiridde . anti latuliini baasimanga za fuuti munaana (8) zokka, oluusi n’obutaziweza. Abaana abato n’abantu abakulu mu maka agasinga obungi baakyamanga mu nsiko okweteewuluza. Wamma ggwe ensowera ne zeekola ekigenyi!!. Ensowera ezisukka ebikumi ne bikumi zaazengereranga mu migongo n’emitwe gy’abantu  abatambuze n’abalimi n’obwana obuto nga tezibutaliza. Era n’abo abaaberanga bavuga obugaali baagendanga na zo mu mabega. Ensowera zaagwanga ku maaso ne nnyindo ne ku mabwa.
Mu malya g’eby’emisana , ensowera zajjanga ne ziwemberera omulyango ate nga ne mu mmere ne chai zigwamu!  Ee wamma ggwe obulamu bwali buzibu ddala.
          Emmese zaali nnyingi nnyo mu mayumba g’abantu , mu nnimiro ne mu nsiko. Era zaalyanga emmere eya buli kika ___ lumonde, muwogo, amawolu, ebinyeebwa, kasooli, ebikunta  n’ebigere bya baana, n’engoye n’ebikunta. Emmese zaakeketanga engalo n’ebigere by’abaana abato nga beebasse.
          Envunza, ebiku, ensekere, enkukunyi, ennyengere n’ebimmonde byatigomyanga nnyo abantu.  Ensanafu, enzige, enkuyege, kayovu, ebisaanyi, kalalankoma, amavuuvumira, ennumba, ensiri  n’ebirala bingi nnyo byayonoonanga nnyo emmere n’amayumba g’abantu. Mu mbeera bw’etyo , obulamu bwali buzibu nnyo. Era olwa leero ky’ova olaba nga tewali nnyumba gy’osanga mu Butambala ewezezza emyaka ekikumi___ yadde  enkaaga okuggyako ezo entono ennyo ezaazimbibwa n’amatofaali n’amabaati.
          Abakazi n’abawala abasunye amabeere tebaalyanga nsenene na nkoko. Era n’endiga nayo tebaagiryanga. Abakazi abalina embuto tebaalyanga nva zitekeddwamu munnyo.

ABAANA BA NKUNNYINGI ABALENZI.

1.     Hajji Sabane Matovu
Yalina emyaka 53 mu 1962 kitaabwe we yakolera ekiraamo kye. Ye yali omusika wa kitaabwe, era ow’omutuba gwa Kyajja. Omutuba guno gwe gwadda mu kifo ky,ogwo kitaawe gwe yali akulembera ogwa Kubooza.
Yagenda e Makka mu 1953 ate n’addayo mu 1997.
Yali mulimi wa pamba n’emmwanyi, era nga akolera ne mu maduuka g’abayindi e Kibibi . Oluvannyuma yeekolera edduuka eyiye, kyokka nga ate asuubula emmwanyi ne pamba e Kibibi. Yayagalanga nnyo eddiini ye.
Baganda be ne bannyina bonna mu makaage mwe baaberanga okutuusa lwe baakulanga ne batandika okwetakulira. Bannyina abaanobanga mu makaage mwe baaberanga.
Ye munna _ Butambala eyasooka okuweerera Mutabani we n’amutuusa mu university e Makerere.
Enkiiko zonna kitaabwe ze yagendangamu ezikwata ku kika yazetabangamu. Era ne mu 1956, omutaka Nsamba lwe yatongoza essiga lya Nkolera , Hajji Sabane y’omu ku bantu abaakola ennyo okutuuka ku kino.
     Hijja y’omwaka 1997 yalimu  akabenje k’omuliro e Munna ne Arafa. Hajji Sabane yawonera watono nnyo okwokebwa omuliro, anti abantu baali bangi nnyo. Sheikh Jalaludiini ye yamusitula okuva awaali omuliro n’amu kasuka ebweru w’olukomera!!!

     Kitaabwe Nkunnyingi yafa mu 1966, era olumbe lwe ne balwabya mu 1967. Hajji  Sabane ye yasika. Jjukira nti Nkunnyingi Okuviira ddala oluberyeberye nga essiga lya Nkolera litongozeddwa omutaka Nsamba mu 1956, yali akulembera olunyiriri n’omutuba gwa  Kubooza. Nkunnyingi teyakulemberako mutuba gwa Kyajja. Era Jjukira nti Nkunnyingi yakkaatiriza mu kiraamo kye nti akuutira abaana be bonna tewabangawo ekintu kyonna kye bakyusa mu kiraamo kye. Kya nnaku okulaba nga ate Mutabani we yennyini ye yasooka okukikyuusa!!!

Hajji Sabane yafa nga  9/5/2009. Mu kwabya olumbe lwe nga 21/6/2009 olwaleeta namuungi w’omuntu, omutaka ow’akasolya Nsamba yakiikiirirwa owessiga lya Kasiita, owessiga Nkoleera , Ab’emituba Naddangira, Muwambiro, Wamberi, Bwanswa, Sabataya ne Katikkiro w’essiga bonna baaliwo. Owessaza Katambala Hajji Twaha Kibalizi Lwanyaaga, Sheikh Obeid Kamulegeya, Sheikh Muzaata Batte bonna baaliwo.

Mutabani we Hajji Sulaiman Seguya ye yamusikira. Ate Hajji Omar Ntanda n’asikira Nkunnyingi omulundi ogw’okubiri. Mu bantu enkuyanja  abeesowolayo okusumikira n’okulanya nga babuulirira abasika bombi, Mwe mwali Asadu Bahima Bamweyana Kiriggwajjo, ono nga ye mukulembeze w’abeeyita ababiito.  Mu kulanya kwe, yagamba nti ye, asibukira ddala mu Ssekabaka kintu!!!!!!

Tewali muntu yenna yamugaana kwogera bye yayagala okutuusa lwe yeemala eggoga. Wabula kisaana kitegeerekeke era kijjukirwe  nti olukiiko lw’essiga lya Nkolera  lwasalawo dda nti “omuntu yenna agamba nti mulangira oba wa kika kirala, ffe tetujjanga kukola mikolo gya  kumwabiza lumbe era naffe tetujjanga kumusuubira kukola gyaffe 

Kya nnaku nti omusika wa Hajji Sabane (Hajji Suleiman Seguya) yamala ebbanga ttono n’alwala obulwadde bw’omutima n’ensigo era n’afa nga 17/12/2010. Hajji Seguya yasikirwa Mutabani we Jafar Matovu ate Muhammad Kamoga n’asumikibwa  ekifundikwa kya Hajji Sabane.


2.     Hajji Omar Ntanda.
Yalina emyaka 51 mu 1962. Ye mukulu w’olunyiriri lwa Nkunnyingi era ye musika wa Nkunnyingi owokubiri.
Ye musajja eyasookera ddala mu Butambala okusoma n’afuna ebbaluwa y’obusomesa okuva mu tendekero  erya Makerere Normal School nga tennaba kufuulibwa Makerere University. Yasomako mu kibiina kimu ne Professor Yusuf lule eyaliko President wa Uganda.
Yasomesa mu masomero mangi mu Butambala era nga ajjanjaba endwadde n’eddagala ezzungu. Eta nga erisinga yalyetabulira., nga akuba n’empiso.
Yanyumizanga nnyo abaana be bonna abaakulira mu maka ge e Wamala (nga n’omuwandiisi w’ekitabo kino mwali) engero nnyingi nnyo ye kennyini ze yayiyanga n’ezo ze yamalanga okusoma mu luzungu ate ye n’azivvuunula. Mu ezo mwe muli olugero lwa “Kibaate Kiwuka Lulaba Mawano” luno lufaananamu n’olugero lwa  “the return of King Odyssius”  olwawandikibwa edda ennyo emyaka kumpi 3000 egiyiseewo omusajja eyayitibwanga Home Omuyonaani..
Wabula teyasobola kutuwandiikira ngero zino abato n’abakulu zandibanyumidde nnyo ku mulembe guno.
Hajji Ntanda musajja mugezi nnyo, amanyi Oluswayiri, olungereza n’oluwalabu, era Quran agikuba budinda. Yaliko Sabawandiisi wa African Muslim Community Bukoto/ Natete ekibiina ekyali kikulirwa Sheikh Zaidi Mugenyi asooka. Yaliko sentebe wa L.C l  we kyalo kye Wamala okumala ebbanga ddene ddala.
Y’omu ku baatandika agamu ku masomero ag’amaanyi mu Butambala nga Kitagobwa sec. school.
Yatutumuka nnyo mu bitundu bye Butambala n’ebitundu ebyetoloddewo, ol’wobukugu bwe yali alina mu kujjanjaba kabootongo n’endwadde endala nga akozesa eddagala ezzungu lye yetabulidde.
Hajji Ntanda ye musajja ayogerwako ebintu eby’enjawulo okusinziira ku buli muntu amumanyi.

Hajji Ntanda amanyi abaana n’abazzukulu bonna abava mu jjajjaffe Kawemwe ne baganda ba Kawemwe  ab’Emituba emirala bonna. Abantu bangi abakulidde mu makaage  okuviira ddala nga ky’ajje atandike okukola.
Y’omu ku baatwala kitaabwe Nkunnyingi e Kalama ew’omusawo Paulo Nangoma bwe yali omulwadde. Era “mpakanya omuntu yenna agamba mbu Nkunnyingi twaamutwala Kibulala ewa Winyi, mbu ne bamutuuza mu ntebe y’abalangira.” Hajji Ntanda bw’agamba. 
Omuntu eyesigamya ensonga z’obulangira bwe ku lugendo olwo mbu Nkunnyingi yatuuzibwa ku ntebbe y’abalangira amanye nti mulimba. 
Buli muntu yenna anoonya amazima n’okumanya ebyafaayo bya Kawemwe yandibadde yamutuukirira dda. kubanga nakati mu 2013 akyaliwo. Ate nga ategeera bulungi.

3.     Hajji Abdu Bukenya Ssalongo.
Yalina emyaka 40 mu 1962 okusinziira ku kiraamo kya kitaabwe. Obulamu bwe bwonna abadde abeera Katabira, era bwe yafa 1/11/2005 yaziikibwa awo okuliraanira ddala kitaabwe.  Y’omu ku bantu ba Nkunnyingi abeetabanga mu nkiiko ezaatutuusa ewa Nsamba n’okutongozebwa kwessiga lyaffe erya Nkolera. Era yaliko omwami w’omuluka mu Gombolola ye Kibibi  okumala ebbanga ddene   
Yagenda e Makka mu 1955, (sso ssi mu myaka gy’enkaaga nga mutabani we  Asadu bw’agamba) .  Omulimu gwe yakolanga gwa kusala mbaawo ne bato be mu bibira ebyali bikutte mu Gombolola ya Ssabagabo e Kibibi.
Tasomangako mu Kabasanda Junior nga Asadu eyeyita omulangira bw’agamba kubanga eddaala lya Junoir omugenzi Sheikh Kasimu Mulumba ye yalireeta mu 1959. Awo Ssalongo yalina emyaka 37. Olwo nga  yakula dda, awasizza, era nga alina n’abaana bangi.

 Yalina erinnya Bukenya nga lya Ngabi n’abaana be bonna be yasooka okuzaala okuva mu 1953 okutuukira ddala eyo mu bisera bya Amin Dada yabatuuma mannya ga Ngabi. Era abamu ku baana abo be bano:-

1.     Omugenzi mayimuna Namatovu (Omuwandiisi we kitabo kino ye yajjanjaba nnyina wa Mayi e Nsambya nga azaaliddwa)
2.     Mukasa Yiga
3.     Badiru Kasozi
4.     Zamu Nabukeera

Ssalongo yatandika okweyita omulangira mu 1981 nga awezezza emyaka 49, oluvannyuma lw’okwabya olumbe lw’owessiga Nkolera Sowed Wamala e Kalamba.  Anti waaliwo ebyayogerwa bakadde baffe abamu Layidi Bukedde b’azaala ebisongovu ebitalina nnyo mugaso, era ne batiisatiisa n’okutabangula Essiga lyonna! Kitalo kubanga kino kyatuukirira. Abdu yagenda n’abo abeyita abalangira.

Administrator General/ Public Trustee,Mr.Joseph Kibande yatuuza olukiiko Ekatabira 14/6/2009 nga ekigendererwa kwe kugonjoola ensonga zonna ezivaako obutakkanya mu zzadde lya Nkunnyiingi
Mu bantu abaali mu lukiiko omwo mwalimu ab’enju ya Ssalongo Abudu Bamweyana Bukenya, nga bakulirwa Asadu “Bahima ”Bamweyana, Hajji Omar Ntanda nga ye mukulu w’olunyiriri lwa Nkunnyiingi, owomutuba gwa Kyajja Ahmed Bukenya, ba member ba LCI eye Katabira, omuwandiisi w’ekitabo kino, n’abalala bangi.

Omukulu Kibande yakukunulayo ekiwandiiko n’asaba Hajji Ntanda akisomere abantu bonna bakiwulire.Yasooka n’amubuuza oba ekiwandiiko ekyo yali akimanyi .Hajji Ntanda kwe kumuddamu nti yali akimanyi bulungi nnyo kubanga kye kiraamo kya kitaabwe omugenzi Hajji Masuudi Nkunnyiingi Muwonge . Hajji Ntanda yakisoma era nga bwakkatiriza ensonga enkulu ezikirimu naddala obuzaale bwa kitaabwe Nkunnyingi , engabanya y’e Ttaka lye, abajulizi era nga beebakuza babaana be, n’ensonga kitaabwe gye yabakuutira nti tewabangawo ekintu kyonna kye bakyuusa mu kiraamo kye.

Omukulu Kibande byamusobera, olwo Asadu n’aleeta olukalala lw’ebintu bye yagamba mbu Seguya yabinyaga, yabibba okuva ku Nnyumba y’omugenzi, era bye bino:-
1)    Amabati 120 (28gauge)
2)    Enzigi    7
3)    Amadirisa  5
4)    Bbulliti 350
Muzzukulu munnange asoma ekitabo kino teweewunya Asadu engeri gy’agamba mbu enju eyazimbibwa mu 1927 yaliko amabaati 120 ne Bbuliti 350!
Ssebo, enju eyo yali yenkana n’e ssomero! Kitalo!
Kino kikulaga obukyayi ab’enju ya Ssalongo bwe baali basiikuula n’e birala bingi nnyo.

Kibande talina nsonga nkulu yonna gye yasalawo, anti abantu baali basuubira nti agenda kusalawo ku ngeri Nkunnyingi gye yagabamu ettaka lye mu kiraamo kye, era n’obuzaalebwe okusinga Nkunnyingi yennyini nanyini bwo!!  N’olw’ekyo omuntu yenna awakanya ebigambo bya hajji Ntanda ebikwata ku kiraamo kya Nkunnyingi ol’wokwagala okuwuwuttanya ettaka lye oba okweyita omulangira akimanye nti yeerimba yekka.

Ssalongo yabulwayo muganda we n’omu mu bazzukulu ba Kawemwe amuwagira. Buli omu yamwegaana okutuusa lwe yafa nga Talina gw’amatizza ku by’obulangira, kubanga yali yeenonyeza bibye na kwawulayawula mu kika.

Kyannaku nnyo!!!!,

 “nti batabanibe Asadu Bamweyana ne Serugga bagenda bawandiika obutabotabo obujjuddemu emivuyo, obulimba n’obutamanya era bagenda babusaasanya mu bazzukulu ba Kawemwe e Buddu n’awalala nga bagezaako okumatiza abatamanyi mbu balangira.”
Wabula mu bintu byonna bye bawandiika tebalina bujulizi bwe balaga ku nsonga zaabwe. 

Kibi nnyo nti bagenda bavuma, okuweebuula n’okuyisaamu amaaso mu bakulu baabwe ne mu lujjudde lw’abanta mu ngeri y’emu nga kitaabwe bwe yakolanga. 
(Kyewunyisa Nkunnyingi ataali mulangira, mu baanabe abasukka 18, okuzaalamu omulangira omu yekka! )
Ssalongo Abdu Bukenya Bamweyana ye yali mutabani wa Nkunnyingi mu bukulu owokusatu, anti mu 1962 yalina emyaka 40 sso nga Hajji Ntanda yalina emyaka 51 ate Hajji Sabane yalina 53.
Ssalongo yalina emize egitasanyusa emibi mingi nnyo Okuviira ddala eyo nga ky’ajje avubuke mu 1940’s, Okutuusiza ddala nga afudde (obujulizi ku bino, osobola okubufuna okuva mu bataka be Kabibi) . Yavumanga bakulu be okusinga Hajji Sabane, Hajji Ntanda ne Eriazali Sserwanga Wamala ne mu muzikiti e Kibibi ne mu Katale nga akozesa ebigambo ebitayisibwa mu kamwa ka muntu- mulamu. Kitalo!
4.     Haruna Kiwanuka.
Yalina emyaka 37 mu 1962. Yali musajja wa kisa nnyo ate nga anyumya nnyo ebintu ebirina amakulu.  Hajji Sabane yamuwa Ekibanja e Ssenene era eyo gye yawasiza n’azaala n’abaana be. Yali muwalimu ku kyalo Ssenene okumala ebbanga gwanvu.  Yafa mu biseera by’entalo z’abayeekera mu 1984 era gye yaziikibwa. 


5.     Hajji Hussein Masengere.
Yalina emyaka 36 mu 1962. Yali musajja mujagujagu nnyo. Ye yasooka okuleeta empapula z’amawulire e Katabira (Uganda Posta, Uganda Eyogera ne Ssekanyolya.)
Yasengukira e Busolo era n’alimayo ebikajjo bye yatwalanga n’e Kampala n’abitundayo. Yeegulira plot e Katwe era ne yeezimbira n’amayumba g’abapangisa e Katwe.

Yasendebwasendebwa Ssalongo Abdu nti mulangira , naye bwe yamala okufa abaana be abamu kino baakigaana era ne bawandiikira omusika wa Nkunnyingi  Hajji Sabane Matovu y’aba ayabya olumbe lwe nga agoberera enkola y’essiga lya Nkolera. 

6.     Jabera Wamala.
Yalina emyaka 34 mu 1962. Yakulira Katabira mu maka ga kitaawe we yavanga nagenda asoma Ekibibi UMEA. Obulamu bwe bwonna yabeeranga Katabira , we yawasiza n’azaala n’abaana be okutuusa lwe yafa mu 1995. Buli mukolo gwonna naddala ogwokufiiwa n’ennyimbe ezaakolebwanga e Katabila yazeetabangamu era nga akola ekye tagisa gisobole okutambula obulungi.
Yayagalanga nnyo abaana ba bakulu be  (nga n’omuwandiisi w’ekitabo kino mwali). Yagaanira ddala eby’obulangira okutuusa lwe yafa. Wabula bwe yamala okufa, abaana be abamu ne beetuuma amannya ag’abalangira.  Kyokka bo tebavuma muntu yenna , era tebalina gwe bawakankulako ntalo za balangira. Bonna bantu balamu nnyo. 

7.     Musa Yiga.
Yalina emyaka 31 mu 1962. Yakulira Katabira era yasomerako e Kibibi UMEA. Omulimu gwe gwali kusala Mbaawo. Yasengukira mu bizinga by’e Bunjakko, Katebo n’awalala. Yagenda asengukira mu bitundu by’e Mawokota emyaka egisukka 40!! Kitalo!, okutuusa lwe yakomawo ku butaka e Katabira mu January 2011.  
Yatunyumiza nti bwe yali asenguka eyo mu myaka gy’enkaaga, e Katabira yalekawo entaana 3 zokka___ eya kitaabwe Nkunnyingi , eya nnyina Kalijja n’eya Asiya!! Kyamwewunyisa nnyo okulaba nga ekijja kya kitaabwe kiziikiddwako abantu enkuyanja bwe batyo?  Oba  Kiki bambi ekyamutawanyanga? Mu December wa 2012, Musa e Katabira yasengukayo!kati oba abeera ludda wa?
Musa yiga yali omu ku bantu abaatwala kitaabwe nga mulwadde e Kalama ew’omusawo Paulo Nangoma. Asekerera abo abagamba mbu taata waabwe yatuuzibwa mu ntebe y’abalangira e Kibulala ewa Winyi.

8.     Abdallahamed Muwonge.
Yalina emyaka 30 mu 1962. Obulamu bwe bwonna abadde abeera Katabira. Wabula ye tayagala kulaga ludda. Amannya gonna g’atuuma abaana be ne bazzukulu be ga ngero oba mabbule era agamu gegano:-  Buyego, Kapere , Kabendera,  Bukuliisa , Nabaweesi,  Biddawo,  Nabisubi, sKyabaggu.

Buyego linnya lya kibira omuli omusambwa gwa Kawumpuli.
Kapere, jjajjaffe Mustafa ye yalyetuuma mu biseera Abatamanyi angamba we baaperukira empisa nga naye mwali mu bavubuka aboku mulembe gwa Mwanga II
Kabendera lyayogeddwako dda awalala.



ABAANA BA NKUNNYINGI ABAWALA

1.     Fatuma Nabukeera.
Yalina emyaka 60 mu 1962. Ye Muwala wa Nkunnyingi omukulu . Bwe yakula yafumbirwa Kawaganya e Mitwetwe. Yabeerako e Mombasa. Bwe yavaayo yaberera ddala awo e Katabira mu bugubi obuyitirivu okutuusa Bwe yafa nga wayise ebbanga tono kitaabwe okufa.
Fatuma yali Muwala mulungi nnyo nga alina akabiri akalungi mu buvubuka bwe. Era abantu kye baava bamuyita Kabiri. ssi ye Nakabiri! Ku kabbuli ye baawandiikako mbu ye Nakabiri,  kino kikyamu.

2.     Kamida Namatovu.
Yalina emyaka 46 mu 1962. Yabeerako ewa jjajjaabwe Kawemwe nga tannafumbirwa. Wabula Kya nnaku nti tewali kintu kyonna kye yajjukira kutubuulira kye yalaba e Kingo ewa jjajjaabwe. 
Yafumbirwa muwalimu Ziwa mu Kitimba. Oluvannyuma n’afumbirwa Kinaalwa Mutabani wa Kyewalabye e Simba.  Waafiridde mu 2010 abadde yeyita mumbejja. 
muzzukulu munaffe asoma bino weebuuze, erinnya Namatovu lya bambejja??

3.     Hajati Yudaya Nabukenya.
Yalina emyaka 40 mu 1962. Yatwalibwa ewa jjajjaabwe Kawemwe e Kingo nga akyali mwana muto, era bwe yasuna amabeere n’alyoka avayo.  Teyalwawo nga bamuzzizza e Katabira n’afumbirwa Sirimani Wagaba eya beeranga mu Lugoye, mu 1942.  Sirimani yali musajja mukambwe nnyo, era lumu yakuba Ssengaffe ono oluga ne lumuyuza omukono, era n’enkovu zikyaliwo !!
Nkunnyingi yasunguwala nnyo era n’agamba omusajja oyo nti taddayo okukuba omwana we bw’atyo mpozzi nga ayagala amufumite effumu. 

Abaana ba Ssengaffe ono ne bazzukulu be baamuzimbira ennyumba e Makindye era kati mu 2013 gy’abeera. Atunyumirizza ebimu ku bigambo by’ajjukira ku Kawemwe emirundi mingi nti 
“Kawemwe yalina e Ngoma ye era bwe yagikubanga , yalayanga nti ‘’Kalikuta ! kalikutanda ne kakusuula mu b’engabi !!” ayongerako nti “ Kawemwe yali amanyi   okubumba emmindi era sente ze yatundanga mu mindi ze, yaziterekanga mu nkanga ye.” 
Omuntu yenna awakanya ebigambo bya Ssengaffe ono, wa ddembe lye.
4.     Hajati Afuwa Nassaka.
Yalina emyaka 37 mu 1962. Yakulira Katabira , era eyo gye yava n’afumbirwa Kabajja eyabeeranga mu Kigatto. Yafumbirwako ewa Swaibu e Kawolongojjo, era oluvannyuma yasengukira e Natete. Yagenda e Makka. Era bwe yafa yaziikibwa Katabira. Nassaka lye linnya lya nnyina wa Nkunnyingi . abalituuma nga baliyita ery’abalangira oba abambejja bakikola mu bukyamu.



5.     Asa Nalubega.
Yalina emyaka 35 mu 1962. Yeyita mumbejja era abeera Katabira. Yali afumbiddwa Kamyuka.

6.     Bitamisi Nabatanda.
Yalina emyaka 35 mu 1962. Ono ye muzzukulu wa Kawemwe ye kennyini gwe yatuuma erinnya lya nnyina, Mbyogerambitya. Yafumbirwa Sumani e Bugoye. Eyo gye yava n’agenda abeera mu baganda be  e Buddu. Era bwe yafa mu March 2008 gye yaziikibwa e Kyabbogo.

7.     Hajati Rehma Nabawanuka Namuyomba.
Yalina emyaka 30 mu 1962. Amaze emyaka mingi nnyo nga abeera mu Kitimba. Teyetaba mu ndoliito za balangira. Yagenda e Makka mu 2010.Ye yasikira Nyense Nabukeera muwala wa Bugeza. Yafumbirwa Kasujja mu Kitimba.

8.     Hajati Jaliya Nakimbugwe Nakanwagi.
Yalina emyaka 29 mu 1962. Yakulira Katabira . Yafumbirwa Hajji Twaibu Lwanga mu 1952.
Hajati Jaliya yalina empisa nungi nnyo ezitasangikasangika mu baganda be. Yayagala nnyo abaana n’abazzukulu ba baganda be.
Era y’omu ku bakuza b’abaana ba bannyina  Hajji Hussein Masengere ne Hajji Sabane Matovu. Yawulirizanga ensonga era n’akuwa amagezi amalungi bwe wabanga omwebuzizzaako.
Hajati Jaliya ne bba Twaibu Lwanga bajjanjaba nnyo Hajji Sabane okutuusa lwe yabafiira mu ngalo mu maka gaabwe mu Lugoye.
“Mungu abongere emikisa!!”

Kya nnaku nti Ssengaffe ono yali ava mu taxi, olwo asale oluguudo lw’e Entebbe e Namasuba , emotoka n’emutomera era naafirawo nga ne bba eyali atudde obusukka kkubo alaba! Yaziikibwa mu Lugoye ewa bba. Ate ne bba olumbe olwamutta amangu lwava ku kabenje ka Pikipiki abaana gye baali bamugulidde awo mu makaage mu Lugoye, nga wakayitawo emyezi mibale.  
“Kitalo nnyo!!”  Emyoyo gyabwe Allah agiramuzise kisa!

9.     Hajati Zamu Namatovu.
Yalina emyaka 24 mu 1962. Yakulira mu Kitimba. Yabeera nnyo e Natete nga musuubuzi wa matooke era n’afuna ne Sente n’agenda e Makka. Yagendanga ne Kooki era yagambanga nti abantu bajajjaffe Asiya eyava e Kooki yali amanyi ebyalo gye baali.
Hajati Zamu Namatovu  ye yasinga okujjanjaba jjajjaffe Hajati Nannyanzi e Natete eyali omulwadde w’olukonvuba okumala emyaka emingi. Yafumbirwa Haji Kiwalabye mutabani wa Sebuliba.

Yalwala obulwadde bwa Sukaali era ne bamutemako ekigere. Okwo kwe kwava olumbe olwamutta. Yaziikibwa Katabira mu 2007.

10.            Janati Nakanwagi.
Yalina emyaka 18 mu 1962.ye muggalanda wa kitaabwe Nkunnyingi. Yabeeranga Katabira; oluvannyuma n’afumbirwa eyo e Buddu era gy’abeera . Yagaanira ddala omuntu yenna okumuyita omumbejja.



ESSUULA  6

EMBEERA Y’ABANTU MU BUTAMBALA 1940-1962.    
Abaana n’abazzukulu mu maka ga Nkunnyingi baalina eby’okukola bingi . Baazannyanga emizannyo googolo, okukuba enkuyo, okubonga enje, semufu, kibugga-tonkutula-kutula, katakulira-muliro, okubuuka amacco, olwesuubo, okuvuga ebigaali, okubuuka.
Abalenzi baateganga enkwale n’enkofu n’amayiba. Tewali muvubuka yenna yali amanyi ku zannya mipiira oba okukwata ekigwo Ggumbya e Katabira. Waaliwo abaali bamanyi okukuba amadinda ne Sekitulege.
Enjala yateranga nnyo okugwa mu Butambala ate nga Nkunnyingi yalina abantu bangi nnyo mu maka ge. Wewaawo yalina ente nnyingi era nga abantu be banywa ku tuta. Abavubuka baagendanga eyo ku lusozi ne mu kibira ne basima Kaama, ne banoga enkenene, empafu, empirivuma, amatugunda, amatungulu n’ensaali.
Oluusi baagendanga ku mugga ne bavuba ensonzi. Era baawakulanga omubisi gw’enjuki ne basima n’ebiswa ne baggyamu kadoma. Anti omubisi gw’enjuki ne kadoma guwooma nnyo!
Awaka waaliwo emiti emituba eminene mingi, era abakomazi b’embugo baavanga mu byalo ebirala ne bajja bagisuubula ne bakola embugo. Tewali muntu wa Nkunnyingi yali amanyi kukomaga mbugo. 
Abantu baaluka nnyo ebikapu bye baatundanga olwo abantu ne bafuna ku ka sente . Mu bisera bya Sematalo II  1939-1945  n’okweyongerayo, obwavu bwali bungi nnyo mu nsi yonna. 
Ennyumba  z’abantu baaziseresanga ssubi oba ssanja,  era emirundi mingi zaakwatanga omuliro naddala abantu bwe baaberanga banyookeza obuloolo. Tewaali muntu yali amanyi kukuba bulooka n’okuzookya.
Muzzukulu munnaffe asomye ekitabo kino, omanyiiyo ekifo kyonna e Buddu oba e Butambala oba awalala wonna w’osanga ebintu bajjajjaffe abaali ku nsi nga Nkunnyingi ne baganda be tebannabaawo bye baakozesanga mu bulamu obwa bulijjo? Bw’oba omanyiiyo tukusaba naffe otubuulireyo tugende tubirabe.
Era weebuuze bino wammanga:-
1.     Abantu abedda omunnyo baaguggyanga wa?
2.     Omuliro baaguggyanga wa ? anti ebibiriiti tebyaliwo.
3.     Enkumbi, embazzi, amafumu, amajambiya baabifunanga batya?
4.     Omukazi akuzaalira mukyala wo yaddukanga lwaki ? (Kubanga abantu tebaalina ngoye oba amaliba oba embugo. Baayitanga bwerere- bukunya. Nyazaala, olw’ensonyi, kye yavanga yeekweka mukoddomi we bba wa Muwala we! )
Mu 1961, omuwandiisi w’ekitabo kino yakyalako e Karamoja. Kye yalaba eyo tekirojjeka! Anti abasajja baakunnumbanga mu kibuga Moroto nga bali bukunya nga bwe baazalibwa, nga bakutte emiggo n’amafumu!
Abaffe, mu 1800 Nkoleera, ye, yali ayambala ki? Oba naye yatambulanga bukunya!!!











OMUWANDIISI
kamoga.jpg
 Omuwandiisi ye Muhammad Kagugube Kamoga, mutabani wa Hajji Sabane Matovu. Ye muzzukulu omulenzi omukulu owa Hajji Masudi Nkunnyingi. Yazaalibwa nga  9/10/1935. Nyina ye Hajati Rukia Nalwoga muwala wa Budala Kiberu eyali owa Ggombolola ye Gombe mu Butambala. Yasomera Kabasanda UMEA, KItagobwa UMEA, KIbuli Junior SS, Nyakasura SS, Makerere University College, University of East Africa Makerere era gye yafunira Diploma mu Education ne Bachelor of Science degree era yasomesa mu masomero mangi. Yakolako mu Uganda Muslim Supreme Council.  Kati abeera Kaasa Ngombe Ward E. Wakiso Town council. Akoze okunonyereza (research) kungi nnyo ku ddagala erisangibwa mu bimera. Alina ebimu ku biwandiiko bya bajjajjaffe, ebiyinza okuyamba omuntu anoonya amazima ku kika kyaffe, ye musika ow’okubiri owa Hajji Sabane Matovu 
Okumanya ebisingawo ku muwandiisi n’ebirala kuba essimu:-
0775307674 

Ekigambo Eky’amagezi
Tukwebazizza muzzukulu munnaffe ayagala ekikaakye n’obuwangwa bwe. Era tukusaba obeere omusaale mu kukuuma obumu n’obwasseruganda  n’ekitiibwa mu kika kyaffe. Tweewale enjawukana zonna, n’okulumangana. Ggwe eyeyita omulangira nga tonnakikola, lowooza emirundi ebiri nga tonnayawukana kubanno, anti eyawukana kumugendo...   tujjumbire enkiiko, okumanyagana, emikolo egitugatta awamu, n’okunoonya okumanya.  
WABULA BW’OBEERA OVA MU NKOLEERA, NGA WEYITA MULANGIRA OBEERA MUKYAMU. EKITABO KINO MANYA AMAZIMA MU KIKA KYO, KYAWANDIIKIBWA N’OMULAMWA GW’OKUMANYISA N’OKUTANGAAZA BAZZUKULU BANNAFFE, KU BIKWATA KU BAJJAJJAFFE N’EKIKA KYAFFE. GWE AFUNYE OMUKISA OKUKIFUNA, KUBIRIZA N’ABALALA BAKIFUNE. TUSOBOLE OKUMANYIRA WAMU EBITUKWATAKO MUKIKA KYAFFE. TETULI BALANGIRA WADDE BAMBEJJA. WABULA ABAANA N’ABAZZUKULU, OMUZIRO NGABI.
 Mwebale nnyo!! 
TUSISINKANE MU VOL. 2


4 comments:

  1. This comment has been removed by the author.

    ReplyDelete
  2. Okoze omulimu gwa ttendo weebale nnyo ssebo kuno kusoomooza kunene eri abo abatannaba kukola kintu nga kino.

    ReplyDelete
  3. Kinno kyemwakola makula

    ReplyDelete

Reasons to Embrace Your Natural Afro Hair There are plenty of reasons to love your  natural afro hair and curls . Caring fo...